Abakazi abeegatta nga tebafunye bwagazi kitegeeza nti tasobola kumala, kale tafuna ssanyu. Emitendera gino giri ena.
Ogusooka kufuna bwagazi oba okufuna ekirowoozo nti oyagala kwegatta oba excitement mu Lungereza. Oguddako guyitibwa plateau era omubiri guba mu mbeera ey’okwegatta ate oguddako kwe kumala mpozzi ogusembayo omubiri okudda mu nteeko oba resolution.
Ku mulundi guno ng’enda kwogera ku mbeera y’omukyala ng’ayita mu mitendera gyonna ate oluddako tulyoke tulabe oludda lw’omusajja.
Abasajja abangi abagamba nti eky’okukola mu buli mutendera twabikoonako katono.
Buli musajja yeegatta kufuna ssanyu n’okusanyusa munno. Naye weebuuze ddala oli wakabi era munno omumanyi bulungi era omusanyusa?
Oluusi osobola n’okumanya nti mukyala wo tafuna ssanyu era abamu basobola n’okwogera nti tomalako. Bino by’olina okwekkaanya ku buli mutendera.

SITEEGI ESOOKA/ AROUSAL

1. Totandika kwegatta ng’okyanoonya munno. Kozesa engalo ng’omunoonya mu bifo nga ensigo, omugongo, ebisambi n’akabina.
2. Mu mbeera eno omukyala mwangu okuggya ku mulamwa (distraction). Ate bw’ava ku mulamwa olwo kitegeeza nti tasobola kufuna bwagazi.
Kitegeeza nti olina okugezaako okumuteeka mu nteeko. Mulina okubeera mu kifo nga talina ky’atya. Mwe abasula n’abaana mu bisenge abakyala abasinga kizibu okwegatta ng’abaana bali awo. Kitegeeza nti abasula mu mizigo oluusi kizibu omukyala okufuna obwagazi.
3 Abakyala abamu balina ensonyi, tebaagala kubatunuulira. Kale yiga munno, waliwo abatayinza kweyambula ng’omutunuulidde, kale oluusi kimuyamba singa omwambula.
4 Yogera obugambo obumusanyusa mu matu, owunya bulungi, mugambe nti omwagala n’ebirala ng’ebyo.
5 Yisa omukono gwo omunywegere era yongera okumugamba obugambo obuwooma, ate wano nsuubira obeera onyiikira okumunywegera.
Ekyokujjukira: Omukyala nga tannakula nnyo kimutwalira wakati w’eddakiika 10 ne 30 okutuuka mu mbeera gy’osobola okwegatta naye. Olwo olina okukebera oba afunye amazzi g’ekyama agalaga nti afunye obwagazi.

SITEEGI EYOKUBIRI/PLATEAU: 

1 Buli musajja bw’otuuka ku siteegi eno, ekigendererwa kusanyusa mukyala atuuke ku ntikko. Okusanyuka oba okumatizibwa kuva ku ngeri gy’osanyusizzaamu omukyala. Olwo bw’okikola omukyala ono tasobola kwerabira ate tasobola kukuleka.
2. Siteegi eno nkulu nnyo ku mukyala kubanga obwagazi bulina okweyongera anti kino okikola mu kwegatta. Tandika okwegatta naye akakukufa okusibuka abalongo [clitoris] tokapapira.
Kitegeeza osobola okusooka n’onoonya mu mbugo olwo akakukufa okakwate bulungi n’obwegendereza. Kino kijja kumwongera okufuna obwagazi era ajja kuleeta ag’emugga agawera. 
3 Bw’otandika okwegatta tokozesa maanyi mangi. Kino kiri nnyo ku bavubuka ne batandiki¬rawo okuvuga Kampala – Masaka nga balinga abali ku mpaka. Tandika mpola ogende ng’oyongeza ku sipiidi mpolampola.
Osobola n’okutandika nga tova mu kifo wabula bw’oyingira n’osooka olaaza, oluvannyuma ng’omaze okusoma embeera y’ekifo gy’oyingidde n’olyoka otandika okutambuza mpolampola.
4 Mu siteegi eno, ekikulu okumanya awali akakukufa okusibuka abalongo, era omulimu gwo omusajja guba gwa kukanyonyogera mu ngeri entuufu kubanga kye kijja okuyamba munno okutuuka ku ntikko.
5 Mu mbeera eno munno naye obwagazi bweyongera ate naawe oyinza okubeera ng’oyagala kumalamu kagoba.
Bw’owulira embeera eno tandika okukendeeza ku sipiidi kw’otambulira naddala bw’olaba nga munno tannatuuka ku ntikko.
Ekyokujjukira: Omusajja olina okwefuga okulaba nga munno asooka kumalamu akagoba naawe n’olyoka otuuka ku ntikko oleme kumuleka ng’awankawanka.

SITEEGI EYOKUSATU /ORGASM: 
1 Ng’otuuse ku siteegi eno jjukira nti bw’okyusa mu mbeera yonna munno ayinza obutamala. Tokyusa kifo oba sitayiro gye mukozesa, sipiidi togiddiriza.
Mu kiseera kino omukazi aba yeefaanaanyirizaako akutte omuliro ng’olina kwongera ‘kuwujja mpewo n’obwegendereza’ guleme kuzikira. Singa tokikola ayinza okuddirira n’adda mu siteegi esooka.
Mu siteegi eno abakyala batera okugamba nti “awo.. awo.. tovaawo”. Olwo aba awulira ng’obuswandi butandise okuwera, ekinaamusobozesa okutuuka ku ntikko.
2 Omusajja bw’oba oyagala mumaliremu kumu akagoba fuba okugumiikiriza, amaanyi gasse ku kumunywegera ebi¬tundu by’omubiri by’osobola okutuukako naye nga tokyusa nnyo.
3 Siteegi eno yeetaaga obu¬gumiikiriza bungi, era abasajja abakisobola batono. Abasinga balemwa, kuba beerowoozaako bokka, ate abalala tebamanyi mibiri gya bakyala baabwe sso ng’abamu balowooza nti kye bakola bakimanyi.
Ekyokujjukira: Omukyala kyangu okukoma mu kkubo sso nga yandibadde asobola okumalamu akagoba.
Kino kiva ku ngeri gye weegattamu naye. Bw’olemwa okumu¬camula ennyo mu kiseera kino kizibu okutuuka ku ntikko.

SITEEGI EYOKUNA /RESOLUTION: 

1 Newankubadde abakyala  abasinga basobola okuddamu okwegatta amangu ddala abasajja baba beetaaga obudde. Kale mu kiseera kino munno munoonye mpola nga naawe bw’ofuna obwagazi.
2 Munno munywegere oba kola ebisinga okumusanyusa naawe nga bw’ofuna amaanyi.Ekyokujjukira: Abakyala baddamu mangu ate gwe weetaaga akaseera.

Leave a comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *