Abavubuka ebiseera ebisinga beegatta kutuusa mukolo ate abalala kukendeeza ku bwagazi. Ssinga kino okikola, obwagazi bwe bukendeera era obwongo ne bukkakkana.
Embeera eno, n’abasajja bagifuna naddala abakozesa abakyala, kubanga yeegatta kukendeeza bwagazi era atuuka mangu ku ntikko kubanga obwongo tebufaayo ku munno gwe weegatta naye wabula ebirowoozo bibeera ku gwe wekka era nga ky’oyagala kumala.
N’ekirala abavubuka era bafuna embeera eno olw’obutonde kubanga obwagazi bwe bufuga okwegatta sso si mukwano.
Era olw’obwagazi obungi bw’otuuka ku ntikko tekyetaagisa kuddamu kuyunga. Ekirala okuyunga kiva ku mbeera y’omubiri n’ebirowoozo. Bwe weegatta ng’otuusa mukolo kiba kizibu okuyunga.
Wadde abasajja balowooza nti balina okwegatta emirundi egisuka mu gumu, naye n’ogumu gumala naddala nga ne munno afunye essanyu

Leave a comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *