Ekibwankulata: ekiddo kino kimanyiddwa nnyo mu kuwonya amabwa. Kirina ebikoola bigazigazi nga bimpimpi, okusinziira ku kifo we kiba kimeze. Tekikoma ku kuwonya mabwa naye mu kufunza obukyala mmo. Funa ebikoola byakyo obiteekeko mu mazzi agookya oba obibabuleko ku muliro otte obuwuka. Bw’omala bikunye biveemu amazzi, osonseke mu mbugo okumala essaawa nga bbiri.

Kajjampuni: Akaddo kano kalina obukoola butono bwanjulukufu okufaananamu kanyebwa. Onoga obukoola obwo n’otta obuwuka nga bwe tulabye waggulu, bw’omala n’obukunya n’osonseka mu mbugo.

Kamunye: Ono naye mukole ekintu kye kimu era omusonseke mu mbugo, oba omuyenge mu mazzi onaabe mu mbugo emirundi esatu olunaku.
Mubiri: Ono abeera n’obukoola butono naye nga bufaanana ekiyondo. Ab’e Buddu bamuyita mubiru. Mukole nga bwe twalabye edda osobole okutta obuwuka. Oyinza okumusonseka mu mbugo oba okumuyenga mu mazzi n’omunaaba mu mbugo emirundi esatu, buli lunaku.

Kanyebwa: Ono abalina ensuku bamwekokkola naye nga ddagala mu kufunza obukyala. Omusonsekayo, oba okumutawaaza. Ago amasandasanda g’alina gamiima era bw’oba omusonsese owulira obuntu obukusika ng’ebbwa eritujja.

Ekiyondo ekyeru: Kino kibeera n’ebikoola bigazi nga birina omubiri omugumu. Kino osobola okukikola nga bwe tulabye waggulu. Naye abakyala abamu bagamba nti bw’omala okutta obuwuka, ddira ekikoola okiteeke ku ka ppamba ekiteeke ku mpale ng’ateekawo ‘paadi’ ng’oli mu nsonga okumala ekiseera. Amazzi gaakyo n’obuswandi bujja kukuyingira mpola gakole kye weetaaga.

Akatuntunu akatono: Kano abazadde bakamanyi nnyo kubanga bakatonnyeza mu busajja bw’abaana nga bubasiiwa n’obukazi bw’abaana okubagema akasagazi. N’abalina embugo engazi mukeekwate. Onoga bukoola n’otta obuwuka n’obukunya n’osonseka mu mbugo.
Akabombo akatono: Noga bukoola, otte obuwuka, obukunye osonseke ebuziba.

Leave a comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *