Tekitegeeza nti buli lwe muneegatta, omukazi alina okutuuka ku ntikko. Ky’olina okumanya nti omukazi okutuuka ku ntikko ayita mu mitendera, ekitali ku musajja.
Omusajja bw’atandika okwegatta era obwongo bwe bubeeramu nti w’anaamaliririza ateekwa okuba ng’amazeemu akagoba. Ku mukazi kino kyawuka.
Okutuusa omukazi ku ntikko y’omukwano, omusajja ateekeddwa okufaayo ennyo ng’ategeera ensibuko y’obwagazi bwa munne, n’assaawo amaanyi ne kimusobozesa okutuuka ku ntikko.
Ekirala kisaana buly’omu okuyiga okwekuumira omwagalwawe kubanga bw’obeera n’omuntu omu okumala ekiseera, otandika okumufaako n’otandika okutegeera ekimusumulula ekibasobozesa okutuuka ku ntikko. Bw’oba weegatta n’abakazi bangi, kizibu okumanya ekisumulula buli omu.

EMITENDERA GY’OKUTUUSA OMUKAZI KU NTIKKO;

 Nga mutandika omukwano, olina okunoonya munno obulungi ekiyamba okumukyusa obwongo n’ebirowoozo.
Jjukira, obwongo kye kitundu ekikulu ekifuga omuzannyo guno gwonna kubanga kye kiyamba okumuteeka mu muudu n’afuna obwagazi.
Mu kiseera kino, obusimu butuuka mu bitundu by’ekyama okwetegekera okwegatta nga n’omusaayi bwe gubiyingira ekibireetera okufuna obwagazi.
Mu kiseera kino, ebitundu by’ekyama bizimba ne biwaga, ensulo ne ziggulira amazzi ng’akabonero akabagulizaako omusajja nti ekijjulo ky’omukwano kituuse okuliibwa era wano omusajja asobola okukwatayo okukakasa.
Era omusajja bwe yeeyongera okunoonya munne, n’obwagazi gye bukoma okweyongera ekyongera okuwoomesa omuzannyo n’atuuka ku ntikko, era naawe gwali naye ebintu ne bikugendera bulungi.
“Omuntu asobola okutuuka ku ntikko nga tavudde mu kifo ate nga teyeegasse kubanga ekikolwa kino kifugibwa bwongo n’engeri gy’omuteeseteesemu, omukwano gw’alina gy’oli n’ekifo we musindira omukwano,” bwatyo Mukisa bw’annyonnyola
Munno bw’olaba tasiriikirizaamu mu ngeri yonna yandiba ng’akudyekadyeka naye nga tatuuse ku ntikko.

Leave a comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *